Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula ettaka ly’embuga ye Kikumbi e Bunamwaya mu mu Ggombolola ya Ssaabagabo -Makindye.
Ettaka lino wewaali watudde olubiri lwa Ssekabaka Kiweewa.
Nyinimu mu kulambula ettaka lino abadde n’abaweereza mu kitongole kye eky’ebyettaka ki Buganda Land Board, abakulembeddwamu Casmir Mukasa Kaliisoliiso wa Buganda Land Board.
Omutaka Kisumugungu Mukasa avunaanyizibwa ku kifo ekyo, abulidde Empologoma ebyafaayo by’ekifo kino n'obukulu bwakyo mu Buganda.
Omutaka Mukasa era aloopedde Matu Mpaggwa abantu ebufunyiridde okunyaga ettaka lino , wabula nti nabo bafunvubidde okulitaasa.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment