Obwakabaka bwa Buganda butongozza enkola  etuumiddwa Tulambule Buganda, egendereddwamu okusobozesa abantu ba Buganda okulambula ebifo byonna  eby'obulambuzi ,Eby'obuwangwa n'ebirala ebyenkizo mu Buganda, nga bayita mu

byalo n'emiruka mu Buganda.

 

Enteekateeka eno etoongozeddwa ,Minister w'Obuwangwa,Amasiro ,Embiri Obulambuzi nebyokwerinda Owek Anthony Wamala, ku mukolo ogubadde ku kitebe ky'ebyobulambuzi e Mengo.


Mu bubakabwe bwatisse Omumyuka asooka owa Ssekibobo Ssenyonjo Moses Kiyimba  mu Buganda, akunze Obuganda bwonna okwenyigira mu nteekateeka eno okulaba nga buli Kyalo n'omuluka byenyigiramu kibayambe okumanya ebyafaayo bya Buganda nebifo eby'enkizo ebibirimu.

 

Munteekateeka eno abantu ba Kabaka bakubakendereza ku bisale byebasasula nga balambula ebifo bino.

 

 

Ssenkulu w'ekitongole ki Buganda Heritage and Tourism Board Najib Nsubuga ategezezza nti enteekateeka eno etongozeddwa yakuyamba abantu ba Ssabasajja okumanya eby'obulambuzi ebiri mu Buganda wamu n'okutumbula ebyobulambuzi mu Uganda

 


 Nalulungi w'ebyobulambuzi mu Ssaza Kyaggwe Nakyeyune Cissy asabye bannakyaggwe okubeera abasaale mukuwagira ebyobulambuzi, nga babirambula, babisomako, nga batandikira ku biri mu masaza gabwe ,era asabye abazadde obutakugira Baana kwolesa bitone byabwe.

 


 

Omwami wa Kabaka atwala egombolola ya Mutuba 2 Najjembe Ssalongo Musoke Edward agambye nti enteekateeka eno yakuyamba abantu bebakulembera okumanya ebintu bingi ebikwata ku Buganda.

 


Kumukolo guno Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board omukungu Najib Nsubuga akwasizza Ssekiboobo ekitabo ki Buganda is  the Gate Way to The Pearl of Africa akifumbekeddemu eby'o bulambuzi byonna ebisangibwa mu Buganda.

 

Bisakiddwa: Nakato Jeniffer Lwantale