Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akomekerezza okulambula abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu ssaza Ssese, nokubatusaako obubaka obuva émbuga.
Katikkiro akomekkereza okulambula kwe ku mukolo oguyindidde ku mbuga ye Ssaza Ssese, n'okuggulawo ekittavu kya Ssese CBS Pewosa Sacco.
Akuutidde abantu b'e Ssese okwettanira ebibiina by’obwegassi basobole okugoba obwavu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, agabye nti ekisinga okuswaza mu Buganda bwe bwavu, nti era kyebava bakunga abantu okwettanira enkola ya CBS PEWOSA, okulima emmwanyi, amatooke, okulunda Ente ya Kabaka, byonna bigenderedwamu kulwanyisa bwavu.
Mu ngeri yeemu Katikkiro akubirizza Abassese okwewalira ddala mukenenya nga bekebeza nga n'abagalwa babwe, ate abalina babudaabudibwe batandike okumira eddagala, nti kubanga abantu abalwadde bakaluubirizibwa okwenyigira mu mirimu gy'enkulaakulana,
Minisita w'Obulimi, Obulunzi, obuvubi n'obwegassi, Owek Hajji Amisi Kakomo Mukasa, yeyazizza Ssaabasajja Kabaka olw'okubalungamya ku nkola ey'obwegassi nagamba Ssese CBS Pewosa Sacco kati ewezezza amasaza 12 enkola ya PEWOSA ey'okutereka n'okwewola gyeyindira nga bayita mu bibiina ebyokwekulakulanya.
Omwami wa Kabaka Ow'essaza Ssese Kweba Augustine Kasirye ng'aliwamu n'omumyuukawe Suzan Namubiru, bagambye nti bakukola ekisoboka kyonna okulaba ng'essaza balina project omuva ensimbi.
Akulira ettabi lya Ssese cbs Pewosa Sacco, Denies Ssekande, asuubiza okutalaga ebizinga 84 ebiri mu Ssese okukunga abantu okwenyigira mu nkola ya Pewosa.
Katikkiro Awerekeddwako; Minisita w'enkulaakulana y'Abantu ba Ssabasajja Kabaka era avunanyizibwa ku byobulamu Owek Chotilda Nakate Kikomeko,
Ow'Essaza Buluuli Kimbugwe Owek Robert Ssonko Kaboggoza, Owek Bbaale Mugera, Ssentebe wa Bboodi ya BUCADEF Dr. Ben Muyinza Ssekamatte, n'Abaami ba Kabaka mu Ssaza Ssese nabakulembeze ba Governent eyawakati.
Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane
Comments (3)
Leave a Comment