Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggalawo Empaka z'Amasaza ga Buganda 2026 mu Kisaawe kya Muteesa II stadium e Wankulukuku mu Kampala, era asiimye n'akwaasa Ssekiboobo Ekikopo wakati mu Ssanyu eritagambika n'Enduulu.
Essaza lya Kabaka Kyaggwe liyingidde mu byafaayo by'Empaka zino okusitula ekikopo kyayo omulundi ogusoose ,bwerikubye Gomba gyooli 1-0 mu Mupiira ogubaddeko n'Obugombe.
Namunswa ku Mpaka zino kwasiimidde nabuuza ku bantube nga abawuubirako, kino nga akikoledde mu Mmotoka eyetoolodde kisaawe kye Wankulukuku kyonna.
Omuteregga abadde awerekerwako Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Omumbejja Catrina Ssangalyambogo, minister w'Abavubuka eby'Emizannyo n'Ebitone Owek. Robert Sserwanga Ssalongo.
Essaza Kyaggwe lyambaziddwa Emidaali gya Zzaabu Omumbejja Catrina Ssangalyambogo, era neryeebazibwa olw'obunyiikivu bweryoolesezza okuviira ddala emabega.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayozaayozezza essaza Kyaggwe olw'okutuuka ku buwanguzi obusukkulumu obw'omwaka guno 2026, omubadde n'Okwolesa empisa kko n'Omutindo omulungi.
Omupiira guno gwetabiddwako abalangira n'Abambejja, Abataka abakulu b'Obusolya, ba minister ba Kabaka, eyali Omumyuuka womukulembeze w'Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi,amyuuka Omukubiriza w'Olukiiko lw'eggwanga Thomas Tayebwa,Akulira oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi, Abaami b'Amasaza ababaka mu Lukiiko lw'eggwanga Olukulu n'abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment