Abantu ba Kabaka abavudde mu masaza ag'enjawulo bakiise embuga nebaleeta oluwalo lwa shs obukadde
172,788,000/=.

Kuliko abavudde mu masaza okuli: Mawokota, Kyadondo, Mawogola, ne Singo, waliwo abavudde mu CBS Pewosa Sacco, n'amasomero g'obwannanyini.

Mutuba II Nabweru baleese obukadde bwa shs 67, era nga bebanywedde akendo mu bibinja by'abantu byonna ebireese oluwalo.


Olukiiko olugatta amasomero g'obwannanyini mu Kampala district, nga lukulembeddwamu Ssentebe walwo Ssalongo Joseph Busiiku Wenemba, nabo  baleese obukadde 16,era Abamu ku Bayizi ba Masomero agakise Embuga neyanziza nnyo Kabaka olw'enteeketeeka eno ebayambye okuyiga ebintu bingi ebifa embuga.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw'abadde atikkula oluwalo luno, agambye nti embeera y'ebyenfuna eri mu ggwanga ezingamizza emirimu mingi, naasaba government eyawakati eyongere okusala ku nsimbi zesaasanyiza mu bintu ebitagasiza wamu bantu,  kiyambeko okukkakanya embeera.

Agambye nti ensimbi ezaaliziva mu mmwanyi nazo zikendeddemu olw'ekyeya ekikosezza ennyo ebitundu ebyenjawulo, ebbeeyi ya shilling ya Uganda eyenjebuse, ate Dollar nerinnya olw'ebintu ebitundibwa ebweru okukendera, saako okumala gafulumya amawulire agakwata ku ndwadde nga Ebola ekiremesezza abalambuzi okujja mu Uganda n'e birala.


Katikiro Mayiga era asabye bannayuganda abakola emirimu egyenjawulo obutatya obutaterebuka lwa bisomwoze byebasanga wabula babisalire amagezi nga bakola ekitufu .

Minister wa gavumenti ez'ebitundu mu Buganda Owek Joseph Kawuki yebazizxa nyo entaakateeka eyatandikibwawo Radio ya Kabaka CBS, eya  PEWOSA abantu mwebayita okwegatta okwekulakulanya wamu n'okwenyigira mu nteekateeka eno eya Luwalo lwange, era  Kyadondo CBS Pewosa Sacco nayo  ekiese embuga n'obukadde bwa shs 20 .

Abadde Omugabe w'olunaku  Omwami wa Kabaka atwala essaza Mawokota Haji Hassan Kasujja Kagga asabye abantu okubeera abayiiya mu mbeera ezibasomooza bazivvuunike mu kifo ky'eokumala obudde nga bakaaba n'okwemulugunya.

Bisakiddwa: Nakato Jenniffer Lwantale