Abakungubazi bakubaganye ku kyalo Gayaza C mu muluka Kawoko mu gombolola ye Butenga mu district ye Bukomansimbi,okukakana ng'omufu basuddeyo musuule mu ntaana.
Bibadde mu maka g'omugenzi Yali Akumanyi Joseph, mu kuziika mukyala wamuzukulu we Wasswa.
Kigambibwa nti Wasswa abadde amaze emyaka ng'abeera ne mukyala we wabula nga tamusasulanga mu bakadde.
Wabula omukyala yamufuddeko, ab'oluganda lw'omukyala nebamusalira obukadde bwa shs 5 n'ente 2 balyoke bamukkirize okumuziika, nti kyokka nasooka abawaako obukadde bwa shs 3.
Kigambibwa nti ab'oluganda lw'omuwala abavudde mu Nyendo Masaka wabula nga baasibuka Rwanda okujja mu Uganda, bwebagenze okuziika e muganda wabwe e Butenga, kwekusaba mukoddomi wabwe obukadde obulala 2 n'ente ebyabadde bisigaddeyo.
Omukoddomi abategeezezza nti abadde tazirinaawo sente zebabadde bamusaba, nabo kwekusalawo nti bagenda kutwalamu muwala w'omugenzi bagende naye, nti bwalituuka okufumbirwa yalisasula ezaalina okusasulwa nnyina.
Abakungubazi n'aboluganda lw'omusajja nabo bavudde mu mbeera nebatabuka, ekiddiridde nguumi n'emiggo okumyooka.
Ebintu byonooneddwa,era police ye Butenga eyitiddwa okuzza embeera mu nteeko era baziise wakati mu bunkenke.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment