CBS PEWOSA Nsindikanjake eyeteerekera Sacco eyongedde okusajjakula, mubyokuwola n'okutereka ensimbi, eweereddwa licence, kati erungamizibwa bank enkulu eya Uganda.
Mu bubaka bwa Gavana wa Bank enkulu eya Uganda bwatisse akulira okulondola bank ze byo busubuzi mu Bank enkulu ey Uganda David Kalyango ku mukolo ogubadde ku bank enkulu mu Kampala, agamba nti nti Licence eweereddwa CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeterekera Sacco buwanguzi bw'amaanyi obukakasa nti ssente z'abantu eziterekebwa mu sacco eno zikuumiddwa Bulungi.
Ssentebbe w'olukiiko olukulu oluddukanya CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeterekera Sacco Rashid Musisi Ssemanda yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw'okuwabula okulungi kwabawa nga kyekibatuusizza kubuwanguzi babafunye .
Omukwanaganya w'ebyobusubuzi n'obwegassi mu bwa Kabaka Mulinddwa Wamala yebazizza nnyo abantu ba Kabaka abateeka mu nkola ekiragiro kya Kabaka eky'obwegassi, era nti Eyeterekera Sacco kyakulabirako kirungi eri abalala.
Ssentumbwe Daniel Herbert Ssenkulu wa CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeterekera Sacco agambye nti Licence gyebafunye okuva mu Bank of Uganda, ejidde mu kiseera kye nnyini eky'okusitula omutindo mu buli kyebakola, nga batuka kubantu ba Kabaka yonna gyebawangalira .
Nsindikanjake Eyeterekera Sacco yatandika mu mwaka gwa 2015 nga yaggulwawo mu butongole Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Bwerutukidde olwaleero nga 07 October,2026 ng'erina abateresi ssekinoomu abasukka mu 1200,ebibiina ebisukka mu 500,emigabo ajisukka mu Buwumbi 2, erina amatabi 22 okwetoloola Buganda.
Ku mukolo gwe gumu Sacco endala 3 nazo zikwasiddwa licence zaazo, okuli Mateete savings and Credit cooperative society Limited ye Ssembabule, Uganda National Bureau of Standards Staff Cooperative savings and credit Society Limited, Kibaya Youth development Cooperative savings and Credit Society Limited esangibwa Mbarara,
Kati ziweze Sacco 10 ezaakawebwa Licence ya Bank of Uganda, endala 35 nazo zikyali mukasengejja, nga bank of Uganda ekyetegereza enkola zaazo ez'emirimu.
Bisakiddwa: Nakato Janefer
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment