Ekibiina ky'ebyobufuzi ki Democratic Front (DF) kyanjudde emiramwa gyekisemba  egyanditaambuliziddwako okuteeseganya n'okwogerezeganya kw'eggwanga, okwayanjulwa General Caleb Akandwanaho Salim Saleh ne Prof. Ogenda Otunu okwatuumibwa consociational democracy.


Mu kiwandiiko abakulu abo kyebaafulumya eri ebibiina by'obufuzi mu ggwanga,bagala bannabyabufuzi abalina endowooza ezenjawulo batuule ne government bawuliriziganye era bakaanye ku ky'okukola government ey'ekipooli  n'ekigendererwa eky'okuggyawo obukaawu n'enjawukana eziri mu ggwanga ezitondeddwawo olw'enjawukana mu byobufuzi.


Ekibiina ki Democratic Front kigamba nti kyaniriza enteekateeka zonna ez'eggwanga okwogerezeganya, wabula emiramwa gy'okwogerako girina okubeera emirambulukufu SSo SSI kugabana buyinza kyokka nga bwekiwulirwa.


President wa DF Mathias Mpuuga asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Namirembe mu Kampala, naayanjula ensonga  ezirina okwogerwako mu nteekateeka eno okuli;

-Enkyukakyuka mu mateeka agafuga eby'okulonda, ---Enkyukakyuka mu ssemateeka afuga eggwanga  azze akyusibwakyusibwa.

-Eneeyisa y'amaggye agatyoboola bannansi

-Ebyenfuna bya bannansi n'ebirala.


-Ensonga endala yeyokwogera ku ngeri y'obuyinza gyebukyukamu okuva ku mukulembeze omu okudda ku mulala.

-Ensonga eyogera ku kusonyiwagana ng'eggwanga nga ebyasoba byogerwako wamu n'okubinogera eddala. 


Owek Mpuuga agambye nti ensonga ezo zonna zezirina okutambulirako okwogera n'engeri gyezirina okussibwamu mu nkola ekaanyizibweko , Sso Ssi kugenda mu kwogera okwokugabana ebifo nga bwekiri kati.


Ekibiina ki Democratic Front era kigamba nti okukyuusa obuyinza bw'eggwanga lino kulina kukaanyizibwako bannansi sso SSI mukulembeze wa ggwanga okusalawo omusika we, nga bwekiwulirwa.