Kooti e Mukono esazizaamu okulondebwa kwa munna NRM Fred Baseke ng'omubaka wa parliament ow'essaza lya Ntenjeru South mu district ye Kayunga, mu musango ogwawabwa Patrick Nsanja Kayongo owa NUP.
Omulamuzi Philip Mwaka bw'abadde awa ensala agambye obujulizi obwaleetebwa bwalagaga lwatu nti okubala akalulu akaakubwa nga 15 January,2026 kunkifo ky'omubaka wa Ntenjeru South kwalimu ebirumira bingi, n'olwekyo akalulu kalina okuddibwamu.
Kooti enokoddeyo obululu obwabalibwa era nebussibwa ku DR Forms ezaaletebwa okuva ku Nakirubi Trading Centre, Nazigo Town Secondary School ne Bukasa Church of Uganda polling stations, nti bwali tebukwatagana nabyalangirirwa.
Omulamuzi agambye nti eyakuliramu okulonda e Kayunga yalemererwa okukola omulimu gwe obulungi, nga bwalambikibwa etteeka erirambika ennonda y'ababaka ba parliament mu kawaayiro No.70 ne 72.
Nsanja yawawaabira Fred Baseke n'akakiiko k'ebyokulonda aka The Electoral Commission of Uganda, era mu nsala y'omulamuzi alagidde akakiiko kaliyirire Patrick Nsanja Kqyongo eyali avuganya mu kalulu ako, ensimbi zonna zaasaasanyirizza mu musango guno.
TheBisakiddwa: Betty Zziwa
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment