President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni alagidde abasuubuzi mu Kampala okuyimiriza akkediimo baddemu baggulewo amaduuka gabwe,okutuusa ku Tueaday ya Wiiki nga 24 November,2026, Cabinent bweneeba emaze okwekenneenya ensonga zabwe.
Obubaka buno bwanjuddwa Ssabaminister w'eggwanga Robinah Nabbanja mu lutuula lwa parliament bwabadde abuulira eggwanga webatuuse mu kukugonjoola ensonga ezaaviiriddeko abasuubuzi okwediima nebaggala amaduuka gabwe.
Ssaabaminister aganbye nti bafunye ensisinkano ez'enjawulo n'abasuubuzi okuwuliriza ensonga zabwe, asisinkanye ab'ekitongole ky'omusolo ekya Uganda Revenue Authority, saako ne ba minister b'ebyensimbi.
Ssaabaminister ategeezezza nti baatuuse n'okusalawo government ne parliament baddemu betegereze ennambika ku nsonga y'omusolo naddala ogugyibwa ku ngoye, era president kweyasinzidde okubalagira bagira naggulawo ensonga yabwe esooke yekkeenenyezebwe.
Akeddiimo k'abasuubuzi kabadde kawezezza ennaku 2, nga bawakanya omusolo ogubabinikibwa ekitongole ki URA omuli n'ogwa kilo,ssente z'obupangisa okuba waggulu,container zabwe ezikandalilizibwa okubaweebwa okuva mu URA n'ebirala.
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment