Sam Mugumya nunnabyabufuzi era eyaliko ddereeva w'eyali president wa FDC Rtd.Col. Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kooti y'amagye gy'asomeddwa emisango gy'okulya munsi olukwe n'okugezaako okutabangula eggwanga.
Mugumya, 47, omutuuze we Rwenkuba mu Rwakabengo, Southern Division mu Rukungiri Municipality, avunaaniddwa n'abajaasi ba UPDF abali ku ddaala lya Lance Corporal, okuli Gift Mukundane and Ochan Isaac.
Kooti y'amagye olubasomedde emisango n'ebasiindika ku alimanda okutuusa nga 21 December, 2026, lwebanadda mu kooti.
Abajaasi basindikiddwa mu nkambi y'amagye gyebagenda okusibibwa, ate Sam Mugumya mu Murchison Bay Prison e Luzira.
Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Colonel Raphael Mugisha ne Lieutenant Regina Nanzala, lutegeezezza kooti nti wakyaliwo obujulizi obukyanoonyerezebwako ku misango egivunaanibwa abasatu bano, nga kigambibwa nti baajizza wakato wa November 2023 ne September 2025, e Bwera Kasese, Kampala, Bundibugyo ne Ntoroko.
Kigambibwa nti Mugumya yali akolagana n'abayeekera ba ADF, era nga yeyakwanaganya obuyambi obwabawebwanga abajaasi bebavunaanibwa naye.
Mugumya n'abajaasi abo bavunaaniddwa omusango gw'okusirikira obubaka obukwata ku bayeekera ba ADF bebamanyi obulungi nti balina ekigendererwa ekisuula government ya Uganda.
Sam Mugumya abadde amaze ebbanga erisoba mu mwaka nga tamanyiddwako mayitire, wabula nga waliwo agabadde gayitingana nti abadde yakwatibwa government era ng'abadde akuumibwa mu kifo ekyekusifu, nga kigambibwa nti yakwatibwa mu August 2025.
Bisakiddwa: Betty Zziwa
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment