Abavubuka bano betabye mu Ntanda ya Buganda 2026 okwoleka byebamanyi ku by'obuwangwa n'ennono, n'ebyafaayo wamu ne Tekinologiya.


Bagamba nti ebibuuzo ebibabuuziddwa tebibadde byakusaaga nti era bibadde kasonsomolera ng'eriggwa ly'ettovu erisonsomolera negyeritafumise, wabula bingi byebayize era ebibawadde obuvumu.


Omu ku bamegganyi Nakaayi Rakir Abdallah omuyizi ku Makerere University, agambye nti Entanda emuwadde omwagaanya okwesowolayo naavuganya ensi n'emumanya. 


" Nange nesowoddeyo nvuganye, bwotesowolayo teri akumanya"


Entanda eweerezebwa ku CBS 88.8 ne ku mutimbagano, okuva ku ssaawa ssatu n'ekitundu ez'ekiro okuva monday okutuuka Friday.


Mu ntanda ebaddewo nga 17 Museenene.m2026 ewanguddwa Muwonge Jackson ne Ssennyomo Micheal nga buli omu afunye obugoba 19.


b Nakaayi Rakir Abdallah afunye obugoba 9 naddirirwa Kigoye Andrew afunye obugoba 5.

Entanda ya Buganda etegekeddwa CBs fm, MTN Uganda, ne MTN MoMo evujjiriddwa Movit ne St Peters Ss Bbombo Kalule.