Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja ataddewo akakiiko akenjawulo akagenda okukwananganya obutakanya bw'abasuubuzi naddala ku bikwata ku misolo bugonjoolwe mangu.
Abasuubuzi baatanudde akediimo nebaggalawo amaduuka gabwe mu kibuga Kampala, nga bemulugunya olw'ekitongole ky'emisolo okubabinika emisolo egisukkiridde egiviiriddeko business zabwe okuzingama, n'abamu okuziggaliwo ddala nga zibalemeredde.
Ssabaminiter asoose kusisinkana abakulembeze b'abasuubuzi mu wofiisi ye mu Kampala okusalira ebizibu bino amagezi,abasuubuzi bamulomboggyedde embeera gyebakoleramu, nebamutegeeza nti emisolo egiyitiridde gibalemesa okufuna ebyamaguzi byabwe mu budde, nga n'ebimu bituuka n'okwonoonekera mu sitoowa za URA nga balemereddwa okusasula emisolo.
Ssaabaminister asinzidde mu ensisinkano enno nateekawo akakiiko akakulembeddwamu minister w'ebyobusuubuzi n'amakolero Sanjay Tanna, minister w'ebyensiimbi n'okutekeerateekera eggwanga Henry Musaasizi n'omumyuka we Amos Lugoloobi, saako abakulembeze abalala balungamye engeri ensonga eno government gyerina okugikwatamu mu bwangu.
Robinah Nabbanja asabye abasuubuzi okusigala nga bakkakamu, bawe akakiiko obudde era mu ensisinkano esuubirwa okuddamu enkya ku Wednesdya nga 18 November,2026.
Abasubuuzi babuulidde Nabbanja nti abamu batuuse n'okutikkulira engoye zabwe n'ebyamaguzi ebirala kumulirwano nga Tanzania ne Kenya, okwewala emisolo egiyitiridde egibagibwako aba URA wano mu Uganda.
Ssenkulu we kitongole kya URA John Musinguzi Rojoki agambye nti kituufu baakizuula ng'abasuubuzi batikkulira eby'amaguzi byabwe mu Kenya, olwo nebabiyingiza mu Uganda nga bakozesa bus basobole okugibwako omusolo omutono.
CBS mukwogerako ne senkulu w'ekibIina ekigatta abasuubuzi ki KACITA, Hajji Isa Ssekitto, nga bebakulembeddemu okuggalawo amadduka gabwe mu kibuga Kampala olw'emisolo egibayitiriddeko, agambye nti balina essuubi nti government yakubawuliriza, baleme kunyigiriza basuubuzi ba lubatu.
Ensonga endala ezikkaanyiziddwako mu nsisinkano tezitegeerekese, olwa bannamawulire obutakkirizibwayo.
Mu ngeri yeemu Omumyuka owokubiri owa Ssabaminiser we ggwanga Dr. Chrispus Kiyonga abadde mu parliament naategeeza nti basuubira ensisinkano zonna ezikoleddwa zakugonjooola ebizibu ebibaddewo.
Amyuka Sipiika wa Parliamnet Thaomas Tayebwa amulagidde okwanjulira parliament alipoota ku binaaba bivuddeyo, ng'ensisinkano ziwedde, parliament nayo esobole okubigoberera okutereeza eby'obuzuubuzi mu ggwanga.
Akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi asabye government nti bweneeba ereeta Alipoota eno etunuulire ebyo ebigenda okumalawo ebizibu by'abasuubuzi sso ssi kubasiba katambaala.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment