Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abayimbi ne bannakatemba ku kwagala ensimbi ez'amangu, naabawa gaabuwa babe bagumiikiriza ebirungi bakubisaanga era babyeyagaliremu.


Bannabitone era abamubirizza okutambuza omulimu gwabwe nga business ezeetongodde era babeere n'ababazi b'ebitabo.


Katiikro abadde mu Bulange e Mengo, Omusiime Mesearch Ssemakula bwabadde azze okuloopa embuga, ekivulu kye ekinabaawo nga 13.11.2026 ku Kingdom Kampala.


Ekivvulu kino Meseach Ssemakula akitegese ng'ajaguza okuweza emyaka 50 egy'obukulu.



Yebazizza bonna abamubeereddewo mu myaka gino 50, era asabye abawagizi be bonna okumujagulizaako emyaka 50 egyobulamu, ng'ali mu kisaawe kyÓkuyimba.


Omusiime Ssemakula areetedde Ssaabasajja Kabaka Amakula gÉnte Nnusu Bulaaya.#