Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ali mu bizinga by'e Ssese, gy'agenze okujjukiza abaayo obukulu bw'okulwanyisa akawuka akaleeta Mukenenya, n'okunnyikiza enkola y'okusitula omutindo mu nzirukanya y'emirimu egyenjawulo, nga batandikira mu maka.

Katikkiro yennyamidde  olw'akawuka akaleeta mukenenya okweyogera e Ssese, ng'okunoonyereza kulaga nti abantu 12 ku buli 100 bebalina mukenenya mu bizinga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, asinzidde mu bizinga by'e Lwazi Musaale Bubeke mu Ssaza Ssese, n'agamba nti abantu mu bizinga balina okubeera nga bajjukizibwa n'okubangulwa okutuufu ku kabi akali mu kulagajjalira obulamu bw'abwe, nekibaviirako okukwatibwa obulwadde n'ekizingamya enteekateeka z'ebiruubirirwa by'abwe. 


Katikkiro  asabye government okwongeza ku musaala gw'abasawo abakolera mu bizinga kubanga beerekereza bingi okukolera mu mbeera erimu okusomoozebwa okungi okuli mu bizinga basobole okutuusa obuweereza ku bantu..

Minisita w'enkulaakulana y'Abantu ba Ssabasajja Kabaka,era avunanyizibwa ku byobulamu Owek Chotilda Nakate Kikomeko, yebazizza abasawo abajjanjabye abantu mu lusiisira lw'ebyobulamu oolukubiddwa e Ssese, abantu abasobye mu 730 bebajjanjabiddwa mu lusiisira luno.

Dr.Ssuuna Micheal ow'e kitongole ekya Uganda Aids Commission, alaze obwerarikirivu olwobulwadde bwamukenenya okweyogera mu district ye Kalangala, neyennyamira olw'abantu abatagala kugenda mu malwaliro kufuna obujjajjabi.


Omwami wa Kabaka Ow'essaza Ssese Kweba Augustine Kasirye ng'aliwamu n'omumyuuka we Suzan Namubiru, beyanzizza Ssabasajja Kabaka olwobujjajjabi bawadde abantu be.
 

Katikkiro Awerekeddwako; Owek Hajji Amisi Kakomo Mukasa Minisita w'Obulimi, Obulunzi, obuvubi n'obwegassi, Ow'Essaza  Buluuli Kimbugwe Owek Robert Ssonko Kaboggoza, Ssentebe wa Bboodi ya BUCADEF Dr. Ben Muyinza Ssekamatte, n'Abaami ba Kabaka mu Ssaza Ssese.

Abakulu abalala ababaddewo ye  Ssentebe wa district Kalangala, Lukuse Agnes Mulwannya, Omubaka wa Kyamuswa Carol Birungi Nanyondo, Omubaka omukyala owa district ye Kalangala Aidah Nabayinga, naamyuuka omubaka wa government  Henry Lubuulwa.

Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane