Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo mu ggwanga ekya UNEB, kiriko abakungu baakyo 2, bekikutte nga kigambibwa nti bekobaanye n'abantu abalala okwenyigira mu kubbirira ebibuuzo bya P.7 ebya PLE.



Kuliko Invigilator amanyiddwa nga Nankabirwa Margaret, eyabadde asindikiddwa ku ssomero lya Prince Junior school e Gayaza, kyokka nti yeekobaanye n’akulira essomero era director waalyo, Hajjat Lazia Nassanga, okukoppera abayizi ebibuuzo.


Waliwo n’omukugu wa UNEB omulala ku daala lya UNEB scout, amanyiddwa nga Kasirye Bumaali, ng’ono ye asangiddwa ng'akuba ebifaananyi empapula z'ebibuuzo, ekimenya amateeka era akwatiddwa.


Jennifer Kalule Musamba, ayogerera UNEB, ategezezza CBS nti abakwate batwaliddwa mu mbuga zaamateeka babitebye.


Waliwo omuyizi afiiridde mu kabenje


Waliwo n'omuyizi ku ssomero lya Bugemeri primary school, mu district ye Lira abadde aweese bayizi banne okugenda ku ssomero abagudde ku kabenje era omuyizi abadde agenda okukola ebibuuzo omu naafirawo.




 

Abayizi emitwalo 920,833, bebewandiisa okukola ebigezo bya PLE 2026


Abayizi batandikidde mu lupapula lwa Mathematics, eggulo nebakola olupapula lwa SST.

Ku lunaku olw'okubiri bakukeerera mu lupapula lwa Science olw’eggulo bakomekkereze n'olupapula lwa English.


Bisakiddwa: Ddungu Davis