Ababaka ba parliament ya Uganda batabukidde government olwokulwawo okutuukirizanga ebisuubizo byayo ku buweereza obwenjawulo, saako n'ebikolebwa eri abantu kinnoomu nebatuuka n’okufa nga tewali kikoleddwa.
Omubaka wa Otuke East County Achon Julius abuulidde parliament nti government eriko bingi byezze esuubiza bannayuganda okubakolera mu bitundu ebitali bimu, wabula nti bakanze kulinda nga buteerere .
Akon anokoddeyo ekya government eyasuubiza okumaliriza ennyumba ye yaliko Sipiika Jocob Olanya eyafa mu mwezi ogwokusatu mu 2022 , nti okuva lweyeyama mpaawo kyali kikoleddwako.
Minister omubeezi ow'a bakozi ba government Lydia Wanyoto Mutende ategezezza parliament nti mu bbanga lya wiiki bbiri wakutwalira parliament okwanukula kwa government ku byezze esuubiza bannansi.
Wabula okwanukula kwa Minister Wanyoto kutabudde Solomon Silwanyi Omubaka wa Bukooli County Central bwategezeezza nti parliament guno mulundi gwakuna ng'etegeezebwa ku ky'okumalirira ennyumba ye yali sipiika Omugenzi Jacob Oulanya wabula, n'okutuusa kati tewali kyali kikoleddwa.
Sipiika wa parliament aliko Jacob Oboth-Oboth asabye abakwatibwako okutwala ensonga eno nga nkulu, okusiima Oulanya, saako nebirala ebizze bisuubizibwa abantu abalala bituukirizibwe.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment