Omwoleso gw'emmere ennansi mu Uganda ogw`omulundi ogwe 16 gubumbunjidde ku Hotel Africana mu Kampala, Ogumanyiddwa nga 16th Annual Indigenous Food and Seed Festival, n'ekigendererwa eky'okukubiriza abantu okuwettanira emmere ennansi okulwanyisa endwadde.


Balimi, abasuubuzi b'emmere ennansi, saako abayizi abasoma eby'obulimi ku Uganda Martyrs University nabalala boolesezza ebika by'emmere ennansi ebyenjawulo. 

Mulimu Lumonde, Katunkuma, obutunda obukaluba, amayuuni agamanyiddwa nga aka Kkopa, ebijanjaalo, endaggu, ensujju, balugu, amatooke n'ebirala.


 Minister w'ebyobulimi, Obulunzi, Obuvubi n`Obwegasi mu Bwakabaka bwa Buganda Owek Amis Kakomo, alabudde ku kabaate akali mu kulya emmere enkolerere, eviiriddeko abantu bangi okufuna endwadde.

Owek.Kakomo agamba nti ensangi zino abantu bafuna endwadde ezisanyaawo obulamu bwabwe, naye ng`ekizibu kiva ku kulya mmere nkolerere.


Minister asabye bannauganda abali mu bulimi n`obulunzi okufuba okwongera omutindo ku byebakola, bwebaba bagala okufuna obugagga obwanamaddala.


Omwoleso guno gutekeddwa Ekibiina ekigatta abalimi nabatunda emmere ennansangwa wamu n`Okwongerako Omutindo ekya PELUM.


 Ruhakana Talemwa Joseph okuva mu PELAMU ategezezza nti singa bannauganda beyongera okwetannira emmere ennansangwa, endwadde nnyingi ezibadde zibasumbuwa baggyakuzegobako.

Bisakiddwa: Musisi John