Police mu Kampala n'emiriraano ekutte Maama lwakudda ku baana be babiri naabookya omuliro ng'akozesa akaso ku bigambibwa nti babadde babbye ssente ze shs 5000.
Maama akwatiddwa ye Nasanga Sophia mutuuze w'e Kireka Bbira mu muluka gwe Nakabugo mu district ye Wakiso, ng'abaana baayokezza kuliko ow'emyaka 7 n'owo 8 nebafuna ebisago eby'amaanyi.
Nassanga ategeezezza police nti abaana bano babadde bafuuse ba kiwagi nga buli ky'abagamba tebakiwulira, ate kwebagasse n'okubba sente ze.
tebamuwulira buli kyabagamba ate babye ne ssente ze 5000.
tebamuwulira buli kyabagamba ate babye ne ssente ze 5000.
Police evumiridde ekikolwa kino era egambye nti omukwatte Ali mu kaddukulu kayo ng'okunonyerezaako bwekugenda maaso.
Omwogezi wa police mu Kampala n'e miriraano Racheal Kawala ategeezezza nti maama ono agenda kutwalibwa mu mbuga z'amateeka avunaanibwa mangu ddala nga fayiro ye ewedde okukolebwako.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment