Kooti enkulu e Masaka enywezezza obuwanguzi bwa Minister omubeezi owa government ez'ebitundu Justine Nameere Nsubuga, ku kifo ky'omubaka omukyala owa Masaka City era neeragira Munna NUP Rose Nalubowa amuliyirire ensimbi zaasasaanyirizza mu musango guno.
Omulamuzi Benard Namanya mu nsala ya kooti gy'ayisizza ku mutimbagano, agambye nti okuddamu okubala obululu obwawa Nameere obuwanguzi kyakolebwa mu bukyamu, nti wabula ate Nalubowa yalemereddwa okuleeta obujulizi obukakasa ebirumira ebyali mu kuddamu okubala obululu.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment