Omukulembeze we ggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni alagidde abakulu mu government ye okusawo enkola (policy) n'amateeka aganyweza engeri abakadde gyebafunamu ensimbi n'ebintu byabwe ebibawebwa okuva mu government.
Museveni agamba nti amateeka bweganakolebwa abakadde bagya kwanguyibwa okufuna ebyetaago byabwe nga obujjanjjabi, ensiimbi z'abakadde ezibawebwa ne birala nga tebinyagiddwa banakigwanyizi
Bino President Museveni abyogeredde mu maka gwobwa President Entebbe bwabadde yetabye ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'abakadde olw'ensi yonna olwatekebwawo ekibina kyamawanga amagatte ki United Nations General Assembly mu mwaka gwa 1990.
Muzeei Museveni ategezezza nti abakadde government tesaana kubeerabira kuba abamu oluusi ne family zabwe zibasulawo nga babeera basigazza government n'e bitongole byobwanakyewa okubayamba okubeerawo mu mbeera ennungi, nga n'olwekyo tayiinza kugumiikiriza bekomya sente zabwe.
Gen Museveni era alagidde abakadde okuwebwa ssente za (PDM) ezigabibwa kumutendera gwe miruka akakadde kamu ,era tayagala kuwulira byekwaso byonna kuva eri ba parish chief nti abakadde tebajja kusobola kusasula.
Minister we byamawulire n'okulunganya e ggwanga Justine Kasule Lumumba asinzidde mu State House, naasubiza okulondoola enteekateeka z'abakadde zonna okulaba nti zibatuukako.
Minister omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z'abakadde Jacqueline Mbabazi yebazizza President olwokukkiriza ne bakuza olunaku lwabwe mu State House ate naabeerawo okubalungamya.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment