Omugenzi Moses Matovu bamusse awo ngóbudde busaasaana, nga waliwo ebigambibwa nti abatemu bamusse agenda kusaala, wewaawo waliwo nébigambibwa nti abadde ava ku mukolo Afrigo Band gyeyabadde agenze okuyimba ku Sheraton Hotel mu Kampala.
Omugenzi Moses Matovu amanyiddwa ennyo nga Papa Moi afiiridde ku gyóbukulu 77, Yazaalibwa nga 19 June 1949, nga yazaalibwa omugenzi Abdallah Bukenya ne Solome Nakitto e Kawempe mu Kampala.
Moses Matovu yali omu ku baatandikawo band eya Afrigo, bband esingira ddala obukadde mu ggwanga yatandikobwa mu 1974, ngágikumyekumye emyaka gyonna nókutuuka leero.
Abadde musajja munnabitone nga takoma ku kuyimba kwokka, wabula nébivuga naddala okufuuwa emirere.
Olugendo lwe olwókuyimba yalutandikira mu band eyayitibwanga Thunderbirds mu 1967, weyava neyeegatta ku band ya police mu 1968 oluvannyuma neyeegatta ku Cranes Band, awo nno weyava ne mikwanogye nebatandikawo Afrigo Band mu 1974.
Omugenzi Moses Matovu yasomera ku Namirembe Parents School ne Kibuli SS, wabula emisomo gye gyatataaganyizibwa mu 1966 ngóbukulembeze obwénsikrirano buwereddwa mu ggwanga, lwa nsonga nti yasomeranga ku sikaala eyali yamuwebwa obwakabaka bwa Buganda.
Ezimu ku nnyimba ezitagenda kwerabirwa omugenzi zaayimbye, mwe muli Afrigo Batuuse, Olumbe Lwóbwavu, Sipiidi kendeeza, Sikulimba, Teri Mubi, Nalongo Wange n'endala nnyingi.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment