Ekibinja ekivudde mu Bwakabaka bwa Buganda kyetabye ku mikolo gy'okukungubagira Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, mu kikaali kye Karuzika e Fortportal.

Nabagereka Sylivia Nagginda amaze olunaku lulamba mu Kikaali era yetabye ne mu kusaba okw'akawungeezi nga 10 September,2026 okutegekeddwa mu Kikaali okusiibula Omukama.

Nabagereka era abadde wamu ne Senga w'omukama Omubiitokazi Elizabeth Bagaya,n'ababiitokazi mu bukama bwe Tooro abalala.

Abataka abakulu b'ebika by'Abaganda nga bakulembeddwamu omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka abakulu ab'obusolya Namwama Augustine Mutumba, nabo bakungubagidde Omukama Rukidi IV, era obubaka bwabwe bwetikkiddqa bakatikkiro babwe, ababutuusizza mu kikaali Karuziika.

Ba katikkiro b'ebika abatumiddwa kuliko Ashly Kitandwe Katikkiro wa Kisolo( Ngonge), Fenekansi Lutuuma Katikkiro wa Mbaziira( Nyange), ne Peterson Kayima Magoba Katikkiro wa Kibondwe ( Nsuma) .


Bawaddeyo omuzingo gw'Embugo. amabugo ag'ensimbi n'obubaka obulala.
Omukama Oyo Rukidi IV yakisa omukono nga 27 August,2026, omugutq negukomezebwawo mu Uganda nga 04 September okuva mu America gyeyafiira. #

Bisakiddwa: Ssebuliba William