Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, eyakweese Omukono ogulamula Tooro, nga yafiiridde mu  America nga 27 August,2026.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akulembeddemu ekibinja ekivudde mu Bwakabaka bwa Buganda, asinzidde mu Kikaali kyÓmukama ekisangibwa e Buziga mu gombolola ye Makindye mu Kampala, nategeeza nti Omukama waabulidde nga musaale nnyo mu kutumbula enkulaakulana mu bantu be e Tooro, ng'essira abadde aliteeka ku kuzza essuubi lyÓkwekulaakulanya mu Bavubuka.


Katikkiro ategeezezza nti bingi Obukama bwa Tooro byebufaanaganya nÓbwakabaka bwa Buganda omuli okubeerana mu nkuza yÁbalangira nÁbambejja, ekikuumidde Obwakabaka nÓbukama mu nkolagana ennungi.

Katikkiro asabye abantu bÓmukama okutambulira ku bubaka bwÓmuteregga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obwokunyweeza enkolagana , obumu nÓmukwano , naddala mu kaseera akazibu.


Omuhiikirwa wa Tooro Calvin Armstrong Rwomiire Akiiki, agambye nti okubula kwÓmukama tekugenda kuyimiriza nkolagana yaabwo nÓbwakabaka era nabwebaza okuyimirira awamu nÓbukama.


Omuhiikirwa agambye nti entekateeka zÓkusitula Abavubuka mu Bukama bwa Tooro ne Buganda tezigenda kuyimirira ,kuba kyekibadde ekiruubirirwa kyÓmukama.


Katikkiro awerekeddwako Abalangira abakulembeddwamu Omulangira David Namugala, Abambejja bakulembeddwamu Omumbejja Victoria Nkinzi , Omukubiriza wÓlukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule, Minister wÉttaka nÉbizimbe Owek FK David Mpanga, Minister wa Cabinet Olukiiko ensonga zÉnkizo Owek Noah Kiyimba, Minister wÁbavubuka ebyemizannyo nÉbitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, nÓmuwandiisi wa Ssaabasajja owekyama Omuk Danstan Mukiibi.


Bisakiddwa: Kato Denis