President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni, alangiridde nti amafuta agasimwa mu Uganda agatanasengejjebwa gakuyitiobwanga  "Pearl Sweet Petroleum".

Enteekateeka ya Uganda eyokutandika okusima amafuta gaayo  etuuse ku bitundu 92%, era essaawa yonna gakuteekebwa ku katale k'ensi yonna.


Okutuuma erinnya lino, kigendereddwamu okwawula amafuta ga Uganda ku malala agali ku katale kensi yonna.

President Yoweri Kaguta Museveni agamba nti Uganda etuuse ku mutendera omunene ogwokuyiikula amafuta era nti erinnya "Pearl Sweet Petroleum", lijiddwa mu ngombo okuba nga gasibuka mu Uganda eyakazibwako erya  Pearl of Africa. 


President Museveni agambye nti amafuta gano gasuubirwa okusakira Uganda obuwumbi bwa doola 2.

President atenderezza government ya China ne France olwokukwasizaako Uganda mu nteekateeka eno, era atenderezza n'emisinde amakolero gaamafuta kwegazimbiddwa.

Ssaabaminister wa Uganda, Robinah Nabbanja, atenderezza abaddukanya ekitongole kya Kingfisher oilfield Development olw'enkulakulana gyebaleese mu bendobendo lye Bunyoro, omuli n'okuzimba ekisaawe kya Kabale International Airport, Kabale Industrial Park nebirala.

Agambye nti bayambako n'okuzimba, naamakubo agoolekera ekisaawe ekigenda okutegeka emipiira gya AFCON ekya Hoima City Stadium, n'eddwaliro Hoima Regional Referral hospital.



Minister w'amasanyalaze n'enkulakulana y'ebyobugagga ebyomuttaka, Dr Monica Musenero, asinzidde wano naatabukira amawanga agaseketerera Uganda olw'okutandika okuyiikula amafuta gaayo, nga bekwasa nti enteekateeka eno yakukosa  Obutonde.#