Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope IV asiimye nayongerayo emikolo gyÓkujjukira Amatikkira ge agabadde gagenda okkubaayo nga 13/9/2026, Obusoga busobole okukungubagira awamu nÓbukama bwa Tooro.


Omumyuuka owookubiri owa Katuukiro wa Busoga Owekitinisa Osman Ahmed Noor asinzidde mu Kikaari kyÓmukama wa Tooro e Buziga, nategeeza nti Obusoga nabwo bunakuwalira wamu nÓbukama, ekiwalirizza emikolo gino okwongezebwayo okutuuka nga 19 September,2026.