Ministry y'ebyettaka mu Uganda ng'eyita mu kitongole kyayo ekiteekerateekera ettaka ekya physical planning, land use,  regulation compliance and enforcement department batongozza enkola ey'okutangira abasalaasala ettaka obulere nebaguza abantu ebipimo ebitatuukiridde mu mateeka.

Bagamba nti ebipimo ebituufu byebalina okutandikirako okupima poloti bya 50/100, ng' omu ku kaweefube wokutangira omugotteko mu ggwanga.


Bwabadde ayogerako eri  abetabye mu lukiiko olutudde ku kitebe kya   Nakifuma Naggalama Town council e Mukono mu Kyaggwe,nga olukiiko luno lwetabiddwamu naba Buganda Land Board, Nguna Sarah omu ku bakugu mu kuteekerateekera ettaka mu ggwanga lino, ategeezezza nti ebimu ku bizibu ebiviiriddeko Uganda okufuuka enzigotta bebasuubuzi b'ettaka.

Agamba nti abasuubuzi b'ettaka basusse  kumpi buli wamu okusalawo obupoloti obusirikitu, awatali kugoberera mateeka kyagambye nti ng'ogyeeko okuleeta omugotteko mu ggwanga, ate bafiiriza ne government omusolo ogwandivudde mu kukuba plan, so ng'obupoloti bwebatunda tebutuukanye na mutindo era ng'ababugula bamala gazimba awatali lukusa lwonna.


Alabudde abasuubula ettaka okukomya okwefuula abalina obukugu mu kuteekerateekera ettaka nga bangi munkulanga obupoloti buno, ate balangirako ne plan yebyo ebisobola okuteekebwa ku ttaka eryo.


Hajjat Rehema Nanvuma Wandera okuva mu Buganda Land Board asinzidde mu lukiiko luno neyebaza aba ministry y'ebyettaka olw'enteekateeka eno nasaba ereme kukoma kwogerwako wabula eteekebwe mu nkola, nti kuba amateeka mangi gogerwako wabula okugassa mu nkola ate nekifuuka gannyana ganywebwa muwangaazi.


Town clerk wa Nakifuma Naggalama T/c Francis Kizito Walubi, ategeezezza  nti balina okusomoozebwa nga abakulembeze olwabo abasuubula ettaka n'okulisala obulere okujeemeranga ebiragiro omuli, noobutagenda mu offiice nga babayise okubaako ensonga zebattaanya, wabula nebasalawo kugenda mu offiice ezawaggulu nga nooluusi babalimirira bakyuusibwe.


SP Walugembe Martin okuva mu offiice eteekerateekera ettaka mu police ya Uganda e Nagguru, ategeezezza nga bwebagenda okukolagana ne ministry okuteekesa mu nkola ekikwekweeto kyokulwanyisa obukuggu bwa poloti mu ggwanga, wabula ng' era etegeezezza nti tebagenda kukoma ku oyo atunda bu poloti buno, naye buli anenyigira mu nsonga eno waakukwatibwa.


Bbo abetabye mu lukiiko luno, omubadde abakulembeze okuva ku gamu ku magombolola okusingira ddala mu Nakifuma constituency, aba LC 1 ne 2, abaami ba Kabaka okuli abemiruka n'abatongole, basabye aba ministry y'ebyettaka mu ggwanga, okuteeka ebirango ku buli mukutu okuli radio, tv, empapula saako social media nga balabula abantu obutagula bu poloti butawera 50/10 ate era bateeke ne tteeka ku mikutu gino obutaddamu kukkiriza basuubuzi ba ttaka kweranga.


Bisakiddwa: Prossy Nalugo