Obwakabaka bwa Buganda bukuzizza Olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez'ebutundu,n'Okusaba okwenjawulo eri abantu ba Kabaka okuteeka essira ku kuba n'amaka amalungi, amayonjo era agegombesa
Emikolo emikulu giyindidde ku Mbuga y'egombolola Ssaabawaali Gombe mu Kyaddondo.
Katikkiro asookedde Bulyammuli mu kutongoza Mayiro ya Bulungibwansi, nadda e Kalyankolo mu Kaalo Amatendo mu maka gÓmumbejja Nawaati Mukasa ow'emyaka 81.

Bw'abadde aggulawo mayiro ya Bulungibwansi ,okulambula Amaka amayonjo n'Okwogerako eri Abantu ba Ssemunywa , katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Bulungibwansi mu Maka alina kulabikira ku buyonjo, naasaba Abantu ba Kabaka okwewalIra ddala Obucaafu.

Katikkiro yebazizza Abaami ba Kabaka olw'obunyiikivu mu nkola y'Emirimu egizza Buganda ku Ntikko, omuli n'Obutakoowa kujjukiza bantu ba Kabaka kuwagira ntekateeka zaabwo.
Minister wa Bulungibwansi n'Obutondebwensi Owek Mariam Mayanja Nassejje, yebazizza Katikkiro olw'obuvumu bwayolesezza mu kwagazisa abantu enkola ya Bulungibwansi, era asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo bakole batyo.
Katikkiro mu ngeri yeemu atenderezza essaza Kyadondo olw'Obuweereza obusukkulumu,obwaliwangizza mu Masaza gonna e 18, olw'enkola y'emirimu enteeketeeke obulungi.

Kyadondo eweereddwa obukadde bwa shs 5, Satifikeeti n'engabo.
Ssingo eryakwata eky'okusatu lifunye obukadde busatu.
Essaza Gomba eryakutte ekyokusatu mu Masaza liweereddwa Obukadde bwa shs bubiri.
Egombolola satu ezaakira ku zinaazo nazo ziweeredswa ensimbi; mumyuuka Kayunga efunye akakadde kamu n'ekitundu, Mutuba esatu Makindye Mukulu wa Kibuga akakadde kamu, ate Ssabagabo Nsangi eweereddwa emitwalo ataano, .
Minister wa gavumenti ez'ebutundu era nga yavunaanyizibwa ku Bantu ba Kabaka ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki, yebazizza abaweereza ku mitendera gyonna mu Ssaza,abaliko kyebakoze okufuula Buganda eyenjawulo.
Omwaami wa Kabaka akulembera essaza Kyadondo Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi, agambye nti Essaza Kyadondo lyetegefu okusigala nga liwangula Empaka zino, naasaba amasaza amalala okulabira ku Kyadondo, okusitula omutindo mu nkola y'emirimu.
Omwaami wa Kabaka akulembera egombolola ya Ssabawaali Gombe Dr Erick Sserugo,alayidde okusigala nga alwanirira Ettaka ly'Embuga, okussibwako enkulaakulana Ssaabasajja gyeyalagira.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment