Obwakabaka bwa Buganda bukwasizza abakulira Nkozi hospital obukadde bwa shs 510, ku nteekateeka y'okuzimba ekifo mu ddwaliro eryo,  awanajjanjabirwa abagudde ku bubenje.


Ensimbi zino zaava mu kyeggulo kya Kaliisoliiso eky'omwaka guno 2026.

Laadiyo ya Kabaka eya CBS nga ekolagana ne bannamukago aba MTN, Uganda naabavujjirizi aba Centenary bank, Rotary n'abalala yasalawo okuwoma omutwe mu kuzimba ekifo eky'omulembe ewanaatuukirwanga abagudde ku bubenje ku ddwaliro ly'e Nkozi mu Mawokota.


Ekigenderwa kyakukendeeza omuwendo gw'abantu abafiira mu bubenje ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.


Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasizza abakulira eddwaliro lya Nkozi Ceeke ya Bukadde bitaano mu kkumi (510 m)  ezaava mu Kyeggulo kya Kaliisoliiso ekyomwaka guno 2026,  era nga wano Katikkiro waasinzidde naategeeza nti Ssaabasajja Kabaka Musanyufu olwomulimu guno.


Katikkiro era yeebazizza CBS olwokutumbula embeera z'abantu ba Kabaka, ate era neyeebaza abakola program ya Kaliisoliiso olwobuyiiya obungi bwebateeka mu mulimu gwabwe ekikuumidde program yaabwe waggulu.

Kaliisoliiso eweerezebwa ku mpewo za Cbs 88.8 ku ssaawa emu kitundu okutuuka ku bbiri, buli lunaku lwa Monday okutuuka Friday.


Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere mu bubaka obumusomeddwa Vicar General w'e Ssaza ekkulu erya Kampala Vicent Rogers Kabuye Mukasa, yeebazizza buli Kitongole n'abantu abawaddeyo ensimbi okuwagira  omulimu guno.


Omumyuka Ow'okubiri owa Katikkiro, Omuwanika wa Buganda era Ssentebe w'olukiiko olutegeka Kaliisoliiso Dinner, Past District Governor  Owekitiibwa Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti bamaze okutema empenda ez' okufuna ensimbi ezokumaliriza omulimu guno mu mwaka gumu n'ekitundu okuva Kati nga Katikkiro bweyabalagira.


Ssenkuku wa CBS Omukungu Micheal Kawooya Mwebe ayongedde okukinogaanya nti CBS yaakwongera okukola ebintu ebisitula embeera z'abantu ba Ssemunywa.


Omukungu Kawooya era yeebazzizza Bannamukago aba MTN Uganda olwamaanyi gebatadde mu kukwasizaako CBS okusitula embeera z'abantu ba Kabaka bwatyo naasaba banna Uganda bonna okwongera okudduukirira omulimu guno, okuwuliriza CBS n'okukozesa empeereza za MTN Uganda.


Akulira ba Kituunzi ba MTN Uganda Joseph Boogera yeeyamye nti MTN yaakwongera  okuwagira omulimu guno wabula naakubiriza abavubuka okukozesa omutimbagano okufunira ebyamaguzi byabwe akatale.


Ku lwa Centenary bank, Immaculate Ngulume agambye nti  beeyama okuwaayo ensimbi buli mwaka okutuusa ng'omulimu guno guwedde.


Akuuma entebe ya Kayima Alhaji Hassan Kasujja Kagga yeebazizza Obwakabaka olwamaanyi gebutadde mu kuzimba ekifo ewanaatuukira abantu abagudde ku bubenje ku ddwaliro e Nkozi eriri mu ssaza lyakulembera,era bwatyo naasaba abantu okubeera abobuvunaanyizibwa nga Bali ku kkubo

Omukolo guno gwetabiddwako Owekitiibwa Cotilda Nakate Kikomeko, Omubaka omukyala owa Mawokota Teddy Nambooze, Akulira board ya CBS omukungu David balaaka, Ssenkulu wa BBS Omukungu Patrick Ssembajjo, bannaddiini, abaana b'amasomero naabantu abalala bangi.


Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus