District ye Wakiso eyimirizza eky'okutwalayo ppulaani z'am,ayumba ez'ebipapula, kati bagala zisindikibwe nga ziyisibwa ku mitimbagano ku computer.
Okusinziira ku Eng. Aziz Abuddalla akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku by'okuzimba amayumba mu district, enteekateeka eno government yajirangirira dda, era ng'ebitundu ebimu nga Nansana municipality, Kira ne Entebbe gyebakozesa.
Eng Aziz Abuddalla agamba nti enkola eno yakukozesebwa abakugu abakirizibwa government okumalawo abafere.
Agambye nti entegeka eno yakutambulira wamu n'enteekateeka y'okukulaakualanya ebibuga eya physical plan egobererwa, ng'abantu tebazimba webatatekeddwa kuzimba n'okumalawo abantu abakyamu mu by'okuzimba.
Eng. Aziz asabye banannyini mayumba oba amakolero bwebaba bakozesa ba Engineer ababakubira plan babeere nabo era betegereze, nga byebagenda okuwereza ddala byebyo byebagala okuzimba.
Abakugu bagamba nti babadde basusse okubonaabona n'abantu abataasomerera mirimu gya kukuba plan n'okuzimba, nga bakola bya gadibe ngalye ekintu ekibadde kyonoona emirimu n'obukugu bbo bwebatendekebwamu.#
Bisakiddwa: Kawuma Masembe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment