Omuhikirwa wa Tooro, Calvin Armstrong Rwomiire Akiiki, ategezezza nti abakulembeze ab'ennono abasoba mu 7 okuva mu mawanga amalala bakakasizza okubaawo okwetaba ku mikolo egy'okutabaaza Omukama Oyo Nnyimba Kabamba Iguru Rukidi IV eyava mu bulamu bw'ensi nga 27 August,2026.
Omuhiikirwa asabye government eya wakati okukola enteekateeka ey'okubakyaza, nti kubanga Omukama Oyo, abadde mukwano gw’abangi.
Agambye
Omuhikirwa Rwomiire era yeebaziza omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olw'okukkiriza naawa omukama ekitiibwa ky'okumutabaaza mu bitiibwa by'eggwanga.
Ssabaminister Nabbanja agambye nti Omuguta gw’omukama Oyo gusuubirwa okutuusibwa mu Uganda ku Thursday nga 03 September,2026 okuva mu America gyeyafiiridde, era gwakukwasibwa Omuhiikirwa wa Tooro, Calvin Armstrong Rwomiire Akiiki, nga gwakatuusibwa ku kisaawe Entebbe.
Tom Butime, minister w'ebyobulambuzi era nga yoomu ku mpagi ennene okuva e Tooro, agambye nti basaaliddwa nnyo olwokuviibwako omukulembeze ow'ennono ku myaka emito, sso nga abadde kitaangaala kya Tooro.
Ebimu kubisuubirwa okukolebwa ng'Omukama Oyo aziikibwa mu bitiibwa by'eggwanga, omuguta gw'omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, gwakusitulibwa abasirikale ba police abali ku ddaala eryawagulu, wakukubirwa emizinga 16, nga abasirikale ba police 8 buli ludda batulisa amasasi mu bbanga omulundi gumu n'ebirala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment