Abakulira ennono mu Bukama bwa Tooro bongedde  okumyumyuula ebiragiro eri abantu abayingira mu Karuziika okulaba ku Muguta gw'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.


Mu biragiro ebiyisiddwa  kuliko okuyimiriza abantu abambadde Galubindi, essaawa ku mikono saako abalina essimu okuyingira nazo munda mu Karuziika, okutangira abagala okukuba Omuguta ebifaananyi.


Minister w'ebyemizannyo mu Bukama bwa Tooro era akukira eby'okwerinda ku lukiiko oluteekateka okutabaaza Omukama,  Owek Hinganja Wandela Micheal ategezezza CBS nti bagala okutangira ebyabaddewo mu nnaku 3 eziyise, olw'abantu abamu abaambala Galubindi n'essaawa ebiriko Camera nebakuba ebifaanayi by'Omuguta mu Lukujjukujju.

Agambye nti tekikkirizibwa, naalabula abantu bonna okukola ekintu kimu okuyingira mu Karuziika bakube eriiso evvanyuma ku Muguta gw'Omukama, bafulume.#


Bisakiddwa: Ssebuliba William