Obwakabaka wa Buganda busaasidde nnyo Obukama bwa Tooro, olwokuvibwaako Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV eyavudde mu bulamu bwensi eno, nga 27 August,2026.

Omukama yafiiridde mu America gy'abadde ajjanjabibwa.

Katikkiro wa.Buganda Charles Peter Mayiga atuuzizza olukungaana lwa bannamawulire, okutuusa obubaka bwa Buganda obusaasira Abatooro olw'okufiirwa Omukama Oyo.

Katikkiro agambye nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, y'omu ku babadde abakuza b'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, eyatuuzibwa ku ntebe y'Obukama bwa Tooro nga wa myaka 3 gyokka mu 1995.

Katikkiro asaasidde Abatooro, nategeeza nti ebiruubirirwa byÓbukama bisannyaladde mu kiseera kino olw'okuviibwako Omukama, kyokka naabagumya era naabasaba okusigala nga bali bumu okuvvuunuka ekiseera kino eky'okusoomozebwa.#