Eyaliko omuzannyi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez'omupiira ogw'ebigere, Alex Yiga, mu butongole yegasse ku club ya URA eya Uganda Premier League. 

Alex Yiga nga yazannyirako ttiimu y'essaza Mawokota, atadde omukono kundagano ya myaka 2 nga acangira URA endiba. 

Alex Yiga okugenda mu URA avudde mu club ya KCCA eya Uganda Premier League gy'abadde yatandikira okuzannya omupiira ku ttiimu ya KCCA ento.

Yatandika okuzannyira ttiimu enkulu eya KCCA mu season ya 2023/24, nga season ewedde yazannyide KCCA emipiira 16 gyokka egya liigi.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe