Police ya Uganda erangiridde nti ekutte omuvubuka Nsamba Vincent ow'emyaka 41 agambibwa okuttemula omuyimbi omwagalwa w’abangi  Moses Matovu.

Nsamba Vincent police emuvumbagiridde mu Ochange zone ku Yesu Amala, mu Munisipaali ye Nansana mu district ye Wakiso.

Nsamba Vincent akwatiddwa police ye Kabalagala, mu bikwekweto ttokkowenja ebikoleddwa ab’ebyokwerinda, oluvannyuma lw'okuttibwa kwa Moses Matovu ku nkya nga busaasaana, mu Market Zone e Kibuli mu division ye Makindye.

Omwogezi wa police mu Kampala ne mirirano Racheal Kawala, ategezeza nti baakutwala Nsamba Vincent mu mbuga za mateeka avunanibwe omusango gw'okutemula Moses Matovu.