Abakulembeze b'amawanga ga East Africa baanirizza enteekateeka z'okusaawo essengejjero  n'amakolero agalongosa amafuta agawamu mu kitundu ekigatta amawanga ga East Africa, nti kigenda kumalawo ebizibu ebya mafuta ebisomoza amawanga ga East Africa ne Africa okutwalira awamu.


Essengejjero lino lizimbiddwa Naggagga Eric Dangote, okuyita mu makolero ge aga  Dangote Industries Limited.

Lizimbiddwa mu Kenya mu kitundu kye Lumu, nga lyakubeera  n'obusobozi obusengejja amafuta agaweza bi ggaalani emitwalo 700,000 buli lunaku.

Abakulembeze okuva mu mawanga okuli Kenya, Uganda, Ethiopia, Tanzania n'awalala betabye ku mukolo ogubadde ogw'okutongoza okuzimba essengejjero lino.

President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni ayaniriza enteekateeka z'okusaawo amakunganyizo n'amakolero agalongoosa amafuta agawamu mu East Africa, nagamba nti ppulaani ya East Africa Petroleum Refinery and Petrochemicals Special Economic Zone egenda kwanguya ku nteekateeka za Uganda zerimu ez'okusima amafuta amafuta gaayo.


President Museveni ategezezza  bakulembeze banne nti musanyufu olwe nteekateeka enno kuba Uganda erina amafuta, era ayogerezaganya bulungi ne President wa Kenya Dr Samuel William Ruto, owa Tanzania Samia Hassan Suluhu ne naggagga wa Nigeria Dangote okulaba nga bakolera wamu Uganda okufulumya amafuta gaayo.

Muzeei Museveni ababuulidde nti Uganda nayo yatandika okuzimba etterekero ettonotono okubala nti bannansi baayo bayambibwa ate n'okutundako mu mawanga agatali gamu, kyokka nti yakuwagira enteekateeka zonna ezokusaawo etterekero eryamu mu East Africa.

President Museveni era ategezeza nti wakuddamu n'okwekenenya ekirowoozo kya President wa Tanzania Samia Suluhu Hassan kyeyamuwa,ekyokuzimba eterekero lya mafuta mu bitundu bya Tanga balabe engeri yokutuukirizamu enteekateeka eno.


 President wa Kenya Dr Samuel William Ruto agambye nti okuzimba essengejjero n'ettereker ly'amafuta eddene mu East Africa, kabonero akokwongera okunyweza obwetengereze bwa mawanga ga East Africa mu byamafuta ,ebyamakolero n'okusitula omutindo, saako okufunira abavubuka emirimu.