Entekateeka y'Okugema Abaana obulwadde bw'Olukusense oba Mulangira ne Lubella okwetoloola eggwanga lyonna etandise nookusaba eri abakwatibwaako okugijjumbira.
Omukama wa Tooro Edward Rukidi Nyabongo, omulimu gwasookeddeko okukola nga yakatikkirwa okutuula ku Ngoma ya Tooro, kwekutongoza okugema abaana obulwadde bwa Mulangira mu Bukama.
Ministry y'Ebyobulamu ng'ekolaganira wamu n'Ekitongole ky'Ebyobulamu munsi yonna world health Organization ne bannamukago aba UNICEF yakkiriza okugema kuno kutandike leero nga 1/10/2026, kukomekkerezebwe nga 5/10/2026 z'Ennaku ttaano.
Abaana okuva ku myezi Mwenda okutuuka ku myaka etaano bebagenda okugemwa olukusense nga bakubwa Kayiso, era nga Abaana Obukadde musanvu bebasuubirwa okugemwa.
Dr Annet Kisaakye Omuk okuva mu kitongole ky'Ensi yonna eky'ebyobulamu, asabye abazadde okujjumbira entekateeka eno, kitaase Abaana b'eggwanga.
Dr Kisakye alambise abazadde obutateeka kintu kyonna mu kifo awakubiddwa akayiso nga banyigawo eccupa, Ice, oba Okunyigawo nti byonna bikyamu.
Dr.Charles Olaro akulira ebyobulamu ebisookerwako mu ministry yÉbyobulamu asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okumatiza Abazadde bagondere enteekateeka ya government.m era asabye abaana bonna bagemebwe awatali kusosola mu kikula kyabwe.
Omumyuka owookubiri owa Kaggo Dr. Phiona Kalinda Nakalinda era nga mukugu mu kujjanjaba endwadde ezisiigibwa, asabye abantu ba Buganda okujjumbira okugema kuno , kutaase ebizibu Abaana byebayinza okusanga mu biseera byomumaaso.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment