Ministry y'eby'obulamu mu Uganda ng'eyambibwako ekitongole ky'ebyobulamu eky'ensi yonna ki World Health Organization, ministry y’Ebyobulamu ne UNICEF , kirangiridde okuddamu okugema abaana obulwadde bwa Mulangira oba Measles okw’Ekikungo, okuva nga 1-5 October 2026
Okugema kuno kugenda kukolebwa ku baana abali wakati w'emyezi 9 okutuuka ku myaka 5.
Entekateeka eno erangiriddwa mu lukungaana olutudde ku Speak Resort e Munyonyo olwa leero nga 23 September,2026, olubadde olw'okukubaganya ebirowoozo ku ngeri yÓkulwanyisaamu obulwadde bwa Mulangira ne Lubella obusukkiridde mu Baana abato ensangi zino.
Okunoonyereza kulaze nti okweyongera kwa Mulangira mu baana abato, kusinze kuva ku mbeera eyaliwo mu biseera by'omuggalo gw'o bulwadde bwa Lumiima Mawuggwe Covid 19, nga Abaana bangi tebaagemwa.
Dr Annet Kisaakye omukungu mu kitongole kyensi yonna eky'ebyobulamu alabudde ku bwa ssemugayaavu mu bazadde n'okwekwasa ebintu ebyenjawulo nebatafaayo kugemesa baana ndwadde zinnamutta, byagambye nti bigenda kusuula Uganda mu buzibu.
Dr Kisakye alambise abazadde obutateeka bintu byanjawulo ku baana abagemeddwa, omuli okubateekako Ice nÓkunyiga obuyiso , byagambye nti byabulabe nnyo eri Abaana ababa bakubiddwa Empiso.
Dr. Charles Olaro akulira ebyobulamu ebisookerwako mu ministry y'ebyobulamu asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okumatiza Abazadde bagondere entekateka ya government, era asabye abaana bonna bagemebwe awatali kusosola mu kikula kyabwe.
Omumyuka owookubiri owa Kaggo Dr. Phiona Kalinda Nakalinda era nga mukugu mu kujjanjaba endwadde ezisiigibwa, asabye abantu ba Buganda okujjumbira okugema kuno , kutaase ebizibu Abaana byebayinza okusanga mu biseera byomumaaso.
Dr Michael Baganizi omukungu mu ministry yebyobulamu mu kitongole ekikwasaganya okugema, ategeezezza nti abaana abasukka mu bukadde musanvu bebasuubirwa okugemebwa.
Commissioner avunaanyizibwa kukusomesa ku by'obulamu Owek. Dr.Richard Kabanda akubiriza abantu bonna okugoberera enteekateeka eno.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment