Omuteebi wa goolo mu ttiimu y'eggwanga lya Bungereza Harry Edward Kane alondeddwa ng'omuzannyi asiinze okucanga endiba munsi yonna omwaka 2026 era nawangula engule eya Ballon Dor.
Omukolo gw'okutikkira bannamupiira abasinze bannabwe omwaka guno 2026, gubaddewo mu kiro kya nga 26 October mu kibuga London ekya Bungereza.
Harry Kane awangudde engule eno omulundi gwe ogusookedde ddala, era Omungereza agiwangidde mu myaka 25, nga Micheal Owen yabadde yasemba okugiwangula mu 2001.
Harry Kane nga omupiira ogw'ensimbi egucangira mu club ya Bayern Munich eya Germany, okutuuka ku buwanguzi buno amezze Kylian Mbappe munnansi wa Bufalansa akutte ekifo eky'okubiri ne Lamine Yamala munnansi wa Spain ekutte ekifo eky'okusatu.
Harry Kane ku myaka 33 egy'obukulu, afuuse omu ku bannansi ba Bungereza okuwangula engule ya Ballon Dor, nga eyasooka ye Stanley Matthews mu 1956, Bobby Charlton mu 1966, Kevin Keegan mu 1978 ne 1979, Micheal Owen mu 2001.
Harry Kane okutuuka ku buwanguzi buno yateeba goolo 61 mu mipiira 51 ku club ya Bayern Munich season ewedde, wabula bwogattako ne zeyateeba ku ttiimu y'eggwanga, ze goolo 73 omugatte mu mipiira 65.
Ousman Ddembele munnansi wa Bufalansa ye yawangula engule ya 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment