Ttiimu ya Uganda ey'omupiira ogw'ebigere eyabazannyi abatasusa myaka 15 eya Uganda Rhinos, eraze amaanyi mu mpaka z'ensi eza FIFA U15 World Cup bwewangudde emizannyo gyonna 2 gyezannye ku Sunday nga 25 October,2026.

Uganda Rhinos ekubye Cape Verde goolo 5 ku 1 mu mupiira gwayo ogusembyeyo.

Uganda Rhinos yasoose kukuba Equatorial Guinea goolo 6 ku bwereere. 

Kati Uganda egenda kuggalawo ekibinja U ku Monday  n'emipiira 2, nga yakuzannya ne Ecuador ne Tonga.

Uganda yagguddewo empaka zino ku Saturday nga 24 October,2026 nga ekubwa Kyrgyz Republic goolo 4-3. 

Empaka zino ziyindira mu kibuga Baku mu Azerbaijan era zitegekeddwa omulundi ogusooka.

Amawanga 189 okuva ku ssemazinga 6 gegavuganya mu mpaka zino. 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe