Essaza ekkulu erye Kampala lijaguzza emyaka 60 bukyanga litondebwawo.

Essaza lino okubaawo lyayungibwa okuva mu masaza 2, okwali essaza lya ba white Fathers abaabeeranga e Lubaga, era lyayitibwanga Rubaga Archdiocese nga likulemberwa Joseph Cabana.
Oluvannyuma, Rubaga Archdiocese yakwasibwa Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu 1953 okutuuka mu 1966, weryagattibwa n'essaza oba ekitundu ekyali kitwalibwa abafalansa, ekyali kimanyiddwa nga Kampala Archdiocese awo nerifuukira ddala essaza ekkulu erya Kampala.
Kati jiweredde ddala emyaka 60 bukyanga litondebwaw, era ng'ekitambiro kya missa kikulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere.
Ssaabasumba Ssemogerere asinzidde mu Lutikko e Lubaga, naavumirira nnyo ebikolwa ebyekko ebituusizza n'okulaba abambadde ssapule nga bebabbi, bamalako bannaabwe emirembe, abamu nebatuuka n'okutta bantu bannabwe.
Ssaabasumba era alabudde abantu obutamala gatwalirizibwa amagezi ag'enkola za Artificial Intelligence, nti wabula bebabalina okuzifuga nga bazibuulira kyebagala zibakolere, sso ssi zzo ate kufuga bantu n'okubasaliwo eky'okukola.
Mu ngeri eyenjawulo Ssaabasumba akwasizza emidaali egy'omiluwendo eri abakristu abaweerezza essaza lino mu ngeri eyenjawulo, era nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aweereddwa omudaali ogwatuumwa Archbishop Kiwanuka Medal.
Waliwo abasaseredooti, n'ebibiina byobwanaddini nabyo ebiweereddwa emidaali.
Katikkiro yebazizza nnyo Ekerezia olw'ebyo bakabona ba Katonda mwebatambuliddeko okuyamba abantu baayo, naddala mu masomero, amalwaliro nebirala ate nga byamutindo, era n’Obwakabaka omwaka guno bwatongoza okutambulira munkola eyomutindo.
Katikiiro Mayiga asabye abakristu okuwagira ennyo ekerezia okwongera okuyamba ebyo ebigasa abantu wakati mu kulaga okukola ebigasa ensi, era yebazizza nnyo ekerezia olwokumulondobayo nemulaba ng'alina kyakoledde eggwanga lyakatonda nebamuwa ekirabo kyomudaali.
Minister webyembuliziganya n,vokulungamya eggwanga, Justine Lumumba Kasule naye asinzidde wano neyebaza ekereziya olwebyo byekoze kulwa government, ng'esobodde okutuuka nemu bifo government wetatuuka.
Minister Lumumba era atenderezza nnyo olw'enkolagana ekerezia gyerina ne government ya NRM nti evudde wala.
Ssabakristu we Ssaza Emilly Kitto Mwaka akukulumidde abantu abasusse okubba ettaka ly'ekerezia.
Omubala ogw’omwaka ogutandise essaza kwerigenda okutambulira gugamba nti “Ffe abalamazi Tutambulire wamu nga tuwuliziganya".
Bisakiddwa: Kawuma Masembe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment