Kaliisoliiso wa government omulamuzi Aisha Naluzze Batala yegyerezza omuteesiteesi omukulu mu ministry y'ebyentambula n'enguudo Waiswa Bageya,  era amukkiriza addeyo akakalanye emirimugye mu bujjuvu oluvanyuma lw'okunoonyereza okuggwa, naazuulwa nti teyenyigira mu misango gya bukenuzi n'obulyake.

Mu mwezi gwa June 2026, Waiswa Bageya nga ye muteesiteesi omukulu mu ministry y'ebyentambula n'enguudo, wamu nabakulu abalala Kaliisoliiso wa government yalagira banoonyerezebweko, kubyeekuusa ku bulyi bw'enguzi obwakolebwa mu kuzimba oluguudo lwa Kampala -Busega -Mpigi express way, ensimbi ezaali ez'okuluzimba bwezaaduumulwa oluvanyuma lw'okukyusa pulaani yaalwo.


Alipoota ekoleddwa kaliisoliiso wa gaovernment ku bakulu bano, eraze nti Waiswa Bageya  vvulugu oyo teyamuliimu, nti yenna  yetoololera ku Engineer Isaac Wani Ono nga ye commissioner w'enguudo ezivunaanyizibwako government eyowakati ezimanyiddwanga National roads.

Kaliisoliiso wa government, anyonyodde nti oluguudo lwa Kampala -Busega -Mpigi Express Highway, lwali wansi w'ekitongole ki UNRA, nga mu kiseera ekyo Engineer Isaac Wani yeyali director w'okuteekateeka enguudo wezinayisibwa ezaali zivunaanyizibwa ku kitongole ki UNRA.

Kaliisoliiso wa government bwatyo awandikidde akulira abakozi ba government Lucky Nakyobe era ye muwandiisi wolukiiko lwaba minister, ng'amutegeeza nti Waiswa Bageya talina musango, akkirizibwe okudda ku mulimu gwe 

Kaliisoliiso anyonyodde nti pulaani n'enteekateeka yonna ey'okuzimba oluguudo lwa Busega -Kampala -Mpigi expressway yali wansi wekitongole ki UNRA, mu ministry yebyentambula nenguudo oluguudo luno lwatwaalibwayo mu mwaka 2014, oluvanyuma lwekitongole kino okugyibwawo.

Kati kaliisoliiso wa government alagidde omuteesiteesi omukulu mu ministry yebyentambula nenguudo nga ye Waiswa Bageya agenda okudda ku mulimu, awumuze Eng Isaac Wani commissioner avunaanyizibwa ku nguudo ezimanyiddwanga National roads.m kisobozese offiisi ya kaliisoliiso okumunoonyerezako olwavvulugu amutambulirako ku nsonga z'oluguudo luno olwa Kampala Busega Mpigi express way 

Okuva mu ntandiikwa, Oluguudo luno lwaali lwakuwementa obuwumbi 545 wabula ensimbi zino zizze zirinyisibwa olwavvulugu eyakolebwa, omuli okukyuusa bwerulina okulabika  negyelwali lulina okuyita, era ebivanyuma okuva mu ministry yebyentambula biraga nti lwakuwementa trillion 2.#