Ministry y'eby'obulamu mu Uganda ezzeemu okulangirira nti mu Uganda temukyali bulwadde bwa ebola,Omulwadde eyasembayo yawona nga July 28,2026.
Minister w'ebyobulamu Dr. Chris Baryomunsi, bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala agambye nti wadde waliwo amawanga agagamba nti abalwadde abazuuliddwayo baayitirako mu Uganda, Uganda teriimu kirwadde kino.
Agumizza banna Uganda baleme kutya, era nti Uganda eyongedde amanyi mu kwetangira ekirwadde wadde kyongedde okukosa amawanga ag'omuliraano naddala Democratic Republic of Congo.
Dr. Chris Baryomunis agambye nti omuntu eyazuulibwamu obulwadde bwa Ebola mu Kenya, nga muvuzi wa bimotoka birukuluna, baasobodde okulondoola abamu ku bantu beyaliko nabo mu Uganda, bonna nebateekebwa mu kalantiini era nti tewali n’omu yaazuliddwamu kirwadde kino.
Minister Dr. Baryomunsi agambye nti ministry eriko enteekateeka zeyataddewo mweneeyita okwewala ekirwadde okukosa banna Uganda omuli n’okugenda mu DRC okukwasizaako abaayo.
Ku nsonga y’omuntu agambibwa okuzuulwamu ebola e Nigeria nga yayitirako e Uganda, minister agambye nti bakyalondoola ebikwata ku mukyala ono, era bakwataganye nekitebe kya Nigeria okumanya ebisingawo.
Akaatirizza enteekateeka ya Uganda, ey’okwongera okunyewza okwekebejja kwabantu abayingira naabafuluma Uganda okuyita ku kisaawe kya Entebbe International Airport ne kunsalo za Uganda zonna naamawanga agalimu ekirwadde okutaasa bannansi.
Dr. Diana Kanziira Atwine, omuteesiteesi omukulu mu ministry yeebyobulamu, agambye nti banna Uganda basaanidde okukolagana n'abebyobulamu ssinga wabaawo embeera yonna gyebateeberezebwa okuba eyekirwadde kino.
Alipoota eyakolebwa mu July,2026 yalaga nti Uganda yafunako abalwadde ba Ebola wakati wa May ne June abaawera 20, nga 15 baali ava mu ggwanga lya DRC, 5 baali bannauganda naddala abasawo ababakolako mu malwaliro, sso nga kubano abantu 2 bokka bebakakasibwa okufa ekirwadde kino nga bombi bannansi ba DRC abaali bazze okufuna obujjanjabi mu Uganda, abalala baawona bulungi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment