Kooti enkulu e Mpigi esazizaamu obuwanguzi bwa munna NUP Ssaazi Godfrey ku kifo ky'omubaka wa Gomba East, oluvannyuma lwa kooti okuzuula nti obumu ku bululu obwakubibwa bwabula, olw'abantu abekumamu ogutaaka nebakyankalanya okulonda mu bifo ebyenjawulo.
Omulamuzi Jamson Karemani agambye nti akakiiko k'eby'okulonda kalina okuddamu okutegeka okulonda mu Gomba East.
MunnaNRM eyali avuganya ku kifo kye kimu, Kirumira Henry Harris Kalule eyafuna obululu 9,156, yaddukira mu kooti ng'awakanya obuwanguzi bwa Ssaazi Godfrey eyalangirirwa ku kifo kino n'obululu 10,907.
Ssaazi yasingako Kirumira obululu 1,751, mu kulonda okwaliwo nga 15 January,2026.
Kalule agamba nti waliwo obululu obwava mu bifo ebironderwamu 4, obutaagattibwa ku byalangirira ebyenkomeredde, saako ebifo ebirala 9 abalonzi gyebeesuulamu jjulume nebonoonayoona ebikozesebwa mu kulonda, okukkakana ng'obululu bungi tebubaliddwa, ekyaggyako abantu bangi eddembe lyabwe ery'okusalawo omuntu omutuufu gwebeerondera.
Ebifo 4 ebitaabalibwa, byaliko abalonzi abaali ku alijesita 959, wabula ng'ebyava mu kulonda biraga nti Kirumira yafuna obululu 453 ate Ssaazi naafuna 366.
Bwebugattibwa ku bululu obw'enkomeredde obwalangirirwa, Saazi yandibadde n'obululu 11,272 ate obwa Kirumira bwandibadde buwera 9,609, ekitegeeza nti Saazi asigala amusingako obululu 1,664.
Wabula Omulamuzi Karemani agambye nti ebifo 9 ebyayonoonebwako obululu, byakosa nnyo ebyava mu kulonda, era obululu bw'abantu 4,387 abaali ku alijesita tebumanyiddwako mayitire.
Omulamuzi Karemani agamba nti obululu obwo bungi, era kizibu kyakumanya ngeri gyebwandibadde bugabanyizibwamu abaali bavuganya.
Ebifo ebyo kuliko Ttaba Trading Centre, Buyebeyi Church of Uganda, Kimbo Catholic Church (A-NAKA), Kimbo Catholic Church (NAKE-Z), Serumbe UMEA Primary School A mu Golola A, Jumbi Church of Uganda, Serumbe UMEA Primary School B e Kibaka, Kindimunda Playground ne St Peter Primary School e Ngeribalya.
Omulamuzi alagidde buli ludda okwesasulira sente zerusaasanyirizza mu musango guno.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment