Police ya Uganda etegeezezza nti  abantu abaakwatibwa ku by'okutemula abafumbo ababiri David Mutaaga ow'emyaka 69 ne mukyala we Deborah Mutaaga mu July wa 2025, bayimbuddwa olw'obujulizi obubalumika obutawera.

Ba Mutaaga baali batuuze be Lugonjo Nakiwogo cell mu Entebbe Municipality.

Abafumbo bano baasangibwa  battemuddwa mu Nnyumba yabwe mu bukambwe, era police yateekawo obukadde bwa shs 50 eri abanagiyambako okugituusa ku baabatemula.
Baali bakakomawo okuva e bweru w'eggwanga gyebaali bamaze emyaka egisoba mu 20 nga gyebabeera, waayitawo olunaku lumu nga baakadda ku butaka nebatemulwa. 
Police eriko abantu beyakwata okugiyambako mukunoonyereza, okwali  Angela Nakalema ne David Golooba.

Omwogezi wa police mu ggwanga Kituuma Rusoke abadde mulukungana lwa banamawulire ku kitebe kya police e Naguru, nategeza nti abaakwatibwa batereddwa olw'obutabaawo bujjulizi bwa nkukunala obubaluma mu ttemu lino.

Agambye nti omusango ggwo gukyaliyo, n'ensimbi obukadde 50 obwateekebwawo bukayliwo, era nti yenna agya n'obujjulizi zakumuweebwa.