Entanda ya Buganda 2026 etandise na maanyi ng'abamegganyi battunka mu kuddamu ebibuuzo ebikwata ku buwangwa n'ennono, ku mpewo za CBS omukutu ogwa 88.8 n'emikutu gyokumutimbagano..


Entanda etongozeddwa minister wa Buganda ow'obuwangwa, Ennono , embiri n'amasiro Owek. Dr.Anthony Wamala mu studio za CBS FM Lumamyo ezisabuukuluddwa mu kiro nga 09 Museenene,2026.

Owek. Dr. Anthony Wamala yeebazizza  laadiyo ya Kabaka CBS olw'okutumbula Ennono n'obuwangwa bwa Buganda ng'eyita mu program eno Entanda ya Buganda n'endala nnyingi.



Agambye nti  CBS etadde ettoffaali ly'amaanyi ku kuzza Buganda ku ntikko, ng'eyita mu kuteekawo enteekateeka ezenjawulo okukulaakulanya abantu ba Kabaka.



Obwakabaka era bwebazizza banna mukago aba MTN NE MTN MoMo naabavujjirizi aba St Peter's Ss Bbombo Kalule ne Movit olwokuwagira Entanda ya Buganda.

Entanda ya Buganda eweerezebwa ku 88.8 cbs fm ne ku mikutu gya CBS egy'omutimbagano, okuva ku ssaawa ssatu n'ekitundu ez'ekiro okutuuka ku ssaawa nnya n'ekitundu, okuva ku Monday okutuuka Friday.

Mu Ntanda mwemuva Omuzira mu Bazira atikkirwa mu Nkuuka nga 31 December, mu Lubiri e Mengo.#