Entanda ya Buganda 2026 yakugyibwako akawuuwo ku Monday nga 09 Museenene ( November), ng'abamegganyi 60 baddamu ebibuuzo ebikwata mu by'obuwangwa n'ennono, ebyafaayo ne Tekinologiya.
Entanda eno yakwetabwamu abantu abakulu, abavunuka n’abaana abato.
Minister wa Buganda ow’obuwangwa n’ennono Owek. Dr.Anthorny Wamala, yagenda okugyiggulawo ku mukutu gwa CBS ogwa 88.8.
Yakubaawookuva ku bbalaza okutuuka ku lwokutaano, yaakutandika nga ku ssaawa n'ekitundu, okutuuka ku saawa nnya n'ekitundu ez'ekiro (9:30 pm – 10:30 pm)
Olumeggana olusooka lwakufundikira nga ennaku z’omwezi 27 Museenene, era nga ku luno, ku mutendera guno abantu 4 beebagenda okusoyebwa ebibuuzo buli lunaku, ababibiri bayitewo ate ababiri basuulibwe.
Olumeggana luno werunaggwerako nga wasigaddewo abamegganyi 3o.
Omutendera ogwokubiri gujja kubeera gwa nnaku 7, era buli lunaku abantu bana beebajja okusoyebwa, ebibuuzo, babiri bayitewo ate ababiri basigale, wegunnaggwerako nga abantu 16 beebesozze omutendera ogwokusatu.
Omutendera ogwokusatu gwakuyindira ennaku 4 gwakutandika nga 09 Ntenvu (December) gwakwetabwamu abamegganyi 4 buli lunaku ababiri bayitewo ababiri basuulibwe. Wegunaggwerako nga abamegganyi 8 beebesozze omutendera ogwo 4.
Omutendera ogwokuna gwakuyindira ennaku bbiri, nga 15 ne 16 Ntenvu, eta abamegganyi 4 beebajja okusoyezebwa ebibuuzo abasatu bayitewo ate omu asuulibwe.
Omutendera guno wegunaggwerako nga abazira omukaaga abalina okumegganira mu lubiri e Mengo mu Nkuuka nga 31 Ntenvu bafuniddwa, mwabo mwemunaava omuzira mu bazira wa 2026.
Oluvannyuma lwokwanjula enteekateeka eno, Akulembeddemu abasoyissoyi omwaka guno Kkojja Ssali Damascus agambye nti buli Thursday bakubeeranga ku masomero agenjawulo gyebanaasoyezanga abayizi mu Ntanda y'abaana, abanaayitangamu olwo bagende babbinkane n'abantu abakulu mu studio za CBS 88.8.
Ssenkulu wa Cbs Omukungu Michael Kawooya Mwebe yeebazizza Company ya MTN Uganda ne MTN MoMo okutta omukago ne CBS ogubalirirwa ensimbi obuwumbi 5 n'obukadde 600 okumala emyaka 3, ogugenda okuyamba mu nteekateeka y'Entanda ya Buganda, n'okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.
Omukungu Kawooya era agambye nti abantu bangi bagenda kuva mu Ntanda n’enkuuka ya luno nga bagagga olw'engeri eyenjawulo gyetegekeddwamu bwatyo kwekusaba abantu okwongera okuwagira enteekateeka za CBS FM, MTN Uganda ne MTN MoMO.
Ssentebe w’enkuuka omwaka guno era nga ye munnamateeka wa CBS Namale Vivian, agambye nti engeri enkuuka y’omwaka guno gyetegekeddwamu tewali muntu agenda kusigalamu kakunkuna.
Ssentebe w’Entanda omwaka guno 2026 era nga yaakulira ebiweerezebwa ku mpewo Hajji Abbey Mukiibi, agambye nti abawuliriza b’entanda omwaka guno bakuganyulwa ebitagambika okusinga bwegubadde.
Omuzira mu bazira wa 2009 era nga ye mutandisi w’essomero lya St Peter's Ss Bbombo Kalule Kkangaawo Omulangira Mulondo Ronald, agambye nti essomerolye lyegasse ku bavujjirizi bentanda okuddiza Cbs nakazadde waalyo.
Entanda n’Enkuuka 2026 bitegekeddwa CBS, MTN Uganda, ne MTN MoMo ate nga evujjiriddwa Company ya Movit n’essomero lya St Peters Ss Bbombo Kalule.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment