Okuwulira omusango oguvunaanibwa aabaalik abakozi ba Parliament kwongezeddwayo okutuuka nga 2 March,2027.
Abawaabirwa okuli eyali avunaanyizibwa ku byamawulire mu parliament Chris Obore, n'abalala 6 bavunaanibwa emisango egyekuusa kukuwuwutanya obuwumbi bwa shillingi 27.2 ezaali ez’okukola emirimu egyenjawulo okutumbula embeera z'abantu.
Omusango gwabadde gwakutandika okuwulirwa olwaleero nga 23 November,2026 mu Kkooti ewozesa abalyake e Kololo, wabula tekisobose olw'abamu ku bannamateeka abawolereza abawawaabirwa obutabeerawo.
Kkooti etegeezeddwa nti bannamateeka ba bawawaabirwa bali mukuwoza misango gyabyakulonda.
Omulamuzi Michael Elubu ayongezaayo omusango guno okutuusa nga March 2, 3 ne 11, 2027,
Oludda oluwaabi lugamba nti abakozi bano baakozesa ebifo bye baalimu mu Parliamrnt nebafuna ssente ezogerwako obuwumbi 27.2 , kyokka ne batazikozesa mirimu zezaali zitekeddwa kukola.#
Bisakiddwa: Betty Zziwa
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment