Ebbago ly'etteega lino lyabagiddwa olukiiko lwa ba minister olwa Cabinet, era mu bbanga ttono lyakwanjulwa mu parliament.
Justine Kasule Lumumba Minister w'amawulire n`okulungamya eggwanga, asinzidde ku Uganda Media Centre mu Kampala nategeeza nti, ebbago ly'etteeka lino lireteddwa nekigendererwa eky`okukendeza ku muwendo gw'abantu ababadde bafuna emmundu mu bukyamu nebazikozesa mu kumenya amateeka.
Government egamba nti wadde mu ssemateeka mulimu amateeka mangi agalungamya enkozesa y'emmundu n'engeri omuntu gyajifunamu, wabula nti gano tegaliimu kulungamya kumala kwekusalawo baleete etteeka eryetengeredde.
Bisakiddwa;Musisi John
Comments (2)
Leave a Comment