President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alonze amyuka ssenkulu wa ssettendekero wa Makerere, Prof Barnabas Nawangwe, okuba ssentebe omuggya w'olukiiko olufuzi olw'ekitongole ekirondoola amatendekero agawaggulu mu ggwanga ekya National Council for Higher education, (NCHE).

 Prof. Nawangwe wakukulembera ekitongole kino okumala emyaka 5 era atandikiddewo obuweereza.

Ebbaluwa ekakasa okulondebwa kwa Prof Nawangwe  okuba ssentebe wa National Council for Higher Education, ng'eriko omukono gwa  president Museveni ya nga 14 November,2026.

Prof. Nawangwe ye mu myuka wa ssenkulu wa  Makerere University, era kino kimuweesa enkizo okuba ssentebe wakakiiko ka National Council for Higher Education, wabula wadde awereddwa ekisanja kya myaka 5, obuwerezabwe e Makerere busuubirwa okukomekerezebwa mu mwezi ogwomunaana omwaka ogujja 2027.


Prof Nawangwe addidde Prof. Joy Constance Kwesiga, mu bigere nabadde omumyuuka wa ssenkulu wa Kabaale University, okutuusa nga 30 June, 2026.

Prof Kwesiga naye yaddirira omumyuuka wa ssenkulu wa ssetendekero wa Kyambogo, Prof Elly Katunguka Rwakisahye ku kifo kino kyekimu.

Bisakiddwa: Ddungu Davis